EKIBUUZO 3
Ani Yawandiika Bayibuli?
“Musa yawandiika ebigambo bya Yakuwa byonna.”
“Danyeri bwe yali yeebase ku kitanda kye, yaloota ekirooto era n’ayolesebwa. Awo n’awandiika bye yalaba mu kirooto ekyo; yawandiika kalonda yenna.”
“Bwe mwafuna ekigambo kya Katonda kye mwawulira okuva gye tuli, temwakikkiriza ng’ekigambo ky’abantu, naye mwakikkiriza ng’ekigambo kya Katonda, nga bwe kiri ddala.”
“Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa mu kuyigiriza.”
“Tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.”