Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula

Katonda ayogera naffe ng’ayitira mu Bayibuli. Tusaanidde okugisoma kituyambe okutegeera oyo eyagiwandiisa. (Yokaana 17:3; 2 Timoseewo 3:​16) Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa Katonda atutegeeza ekigendererwa kye eri abantu n’ensi.​—Olubereberye 3:​15; Okubikkulirwa 21:​3, 4.

Bayibuli kye kitabo ekisingayo okuba eky’omugaso mu bulamu bw’abantu. Etuyamba okutegeera engeri za Yakuwa, gamba ng’okwagala, ekisa, n’obusaasizi. Ewa abantu essuubi, ne basobola okugumira n’embeera enzibu ennyo. Era etuyamba okutegeera engeri y’okwewalamu ebintu ebibi ebiri mu nsi ebikontana n’ebyo Katonda by’ayagala.​—Zabbuli 119:105; Abebbulaniya 4:12; 1 Yokaana 2:15-17.

Mu kusooka, Bayibuli yawandiikibwa mu lulimi Olwebbulaniya, Olulamayiki, n’Oluyonaani, naye kati evvuunuddwa mu nnimi ezisukka mu 3,000, mu bitundutundu oba mu bulambalamba. Bayibuli kye kitabo ekikyasinzeeyo okuvvuunulwa n’okusaasaanyizibwa. Ekyo kituukana bulungi n’obunnabbi bwa Bayibuli obugamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka [obubaka obukulu obuli mu Bayibuli] galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Matayo 24:14.

Olw’okuba tukimanyi nti obubaka obuli mu Bayibuli bukulu nnyo, tuvvuunudde Bayibuli eno n’obwegendereza. Tukimanyi nti kikulu nnyo okuvvuunula obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda mu ngeri entuufu. Bayibuli eno tugivvuunudde nga twesigama ku nkyusa ya Bayibuli eya New World Translation of the Holy Scriptures eya 2013. Tubadde n’ekigendererwa eky’okufulumya enkyusa ya Bayibuli entuufu era ekozesa ebigambo ebyangu okutegeera. Ebyongerezeddwako ebirina emitwe “Obulagirizi Abavvuunula Bayibuli Bwe Baagoberera,” “By’Olina Okumanya ku Nkyusa Eno,” ne “Engeri Bayibuli Gye Yatutuukako” birimu ebintu ebikulu by’osaanidde okumanya ku nkyusa ya Bayibuli eno.

Abo abaagala Yakuwa Katonda era nga baagala okumusinza mu ngeri gy’asiima, beetaaga enkyusa ya Bayibuli entuufu era etegeerekeka obulungi. (1 Timoseewo 2:4) Tuli bakakafu nti enkyusa ya Bayibuli eno ey’Oluganda ejja kuyamba abantu ng’abo. Tusuubira nti enkyusa ya Bayibuli eno ejja kukuyamba ng’ofuba ‘okunoonya Katonda osobole okumuzuula.’​—Ebikolwa 17:27.

Akakiiko Akavvuunula Bayibuli ey’Enkyusa ey’Ensi Empya

Jjuuni 2013