Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 99

Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde

Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde

(Okubikkulirwa 7:9, 10)

  1. 1. Obukadde n’obukadde

    Obw’ab’oluganda,

    Bajulirwa banywevu

    Ate nga beesigwa.

    Tuli bangi nnyo ddala

    Ng’ate tweyongera.

    Mu mawanga gonna ’g’omu nsi,

    Tutenda Katonda.

  2. 2. ’B’oluganda tuli bangi;

    Tubuulira wonna

    ’Mawulire ’malungi

    Agayaayaanirwa.

    Tubuulira n’essanyu

    Wadde nga tukooye.

    Yesu atuzzaamu amaanyi;

    Tulin’e mirembe.

  3. 3. ’B’oluganda tuli bangi;

    Katonda ’tukuuma

    Era ’tulabirira

    Nga tumuweereza.

    Tuli bangi nnyo ddala;

    Tubunyis’e njiri.

    Katonda tukola naye nga

    Tuweereza ku nsi.