OLUYIMBA 32
Nywerera ku Yakuwa!
-
1. Twali nga tutabuddwatabuddwa
Nga tuli mu ddiini z’obulimba.
Twasanyuka nnyo bwe twawulira
’Mawulire ’malungi.
(CHORUS)
Yakuwa Katonda, Munywerereko.
Talikwabulira; Akufaako nnyo.
Buulira enjiri Ey’emirembe.
Obwakabaka bwe Tebulikoma.
-
2. Tuweerereza wamu Katonda;
Tubuulira ’bantu mu nsi yonna.
Kino kye kiseera basalewo
’Kuweereza Katonda.
(CHORUS)
Yakuwa Katonda, Munywerereko.
Talikwabulira; Akufaako nnyo.
Buulira enjiri Ey’emirembe.
Obwakabaka bwe Tebulikoma.
-
3. Tetutya Sitaani ky’anaakola
Kubanga ffe twesize Yakuwa.
’Balabe ka babe bangi batya
Katonda atuyamba.
(CHORUS)
Yakuwa Katonda, Munywerereko.
Talikwabulira; Akufaako nnyo.
Buulira enjiri Ey’emirembe.
Obwakabaka bwe Tebulikoma.
(Laba ne Zab. 94:14; Nge. 3:5, 6; Beb. 13:5.)