OLUYIMBA 26
Mwabikolera Nze
-
1. Bonna abayamba baganda ba Kristo
abakyali ku nsi basiimibwa nnyo.
Yesu wa kubawa
empeera nnene nnyo
’Lw’okuwagira baganda be abo.
(CHORUS)
“Bye mwabakolera, mwakolera nze.
Mwababudaabuda; mwabayambanga.
Ebintu ebyo mwabikolera nze.
Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.
Bye mwabakolera, mwakolera nze.”
-
2. “Bwe nnalumw’e njala mwampa eky’okulya;
mwanfaako nnyo ddala; mwambudaabuda.”
“Twakukolera ddi
’bintu ebyo byonna?”
Bw’ati Kabaka bw’alibaanukula:
(CHORUS)
“Bye mwabakolera, mwakolera nze.
Mwababudaabuda; mwabayambanga.
Ebintu ebyo mwabikolera nze.
Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.
Bye mwabakolera, mwakolera nze.”
-
3. “Mujje mmwe Kitange be yaw’o mukisa;
mujje musikire Obwakabaka,”
Yesu bw’aligamba
abo abeesigwa
Abawagidde ennyo baganda be.
(CHORUS)
“Bye mwabakolera, mwakolera nze.
Mwababudaabuda; mwabayambanga.
Ebintu ebyo mwabikolera nze.
Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.
Bye mwabakolera, mwakolera nze.”
(Laba ne Nge. 19:17; Mat. 10:40-42; 2 Tim. 1:16, 17.)