Nsonga ki Ebbiri Ezireetera Katonda Obutawuliriza Ssaala Ezimu?
Bayibuli ky’egamba
Waliwo essaala Katonda z’ataddamu. Weetegereze ebintu bibiri ebiyinza okuviirako Katonda obutawuliriza ssaala za muntu.
1. Essaala ezikontana n’ebyo Katonda by’ayagala
Katonda taddamu ssaala ezikontana n’ebigendererwa bye oba n’ebyo by’ayagala, ebiri mu kigambo kye Bayibuli. (1 Yokaana 5:14) Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etukubiriza okwewala omululu. Okukuba zzaala kireetera abantu okuba ab’omululu. (1 Abakkolinso 6:9, 10) N’olwekyo, omuntu bw’asaba Katonda amuyambe awangule omuzannyo gwa zzaala, Katonda tasobola kuddamu ssaala ng’eyo. Katonda tamala gaddamu buli kimu omuntu ky’asaba. Mu butuufu, okuba nti Katonda tali bw’atyo kya muganyulo gye tuli. Singa yali amala gaddamu buli kimu omuntu ky’asaba twandibadde tubeera mu kutya olw’ebintu abantu abamu bye basaba.—Yakobo 4:3.
2. Omuntu asaba bw’aba nga mujeemu
Katonda tawuliriza abo abajeemera ebiragiro bye. Ng’ekyokulabirako, abantu abaali beetwala nti baweereza Katonda kyokka ate nga bakola ebintu ebikyamu, Katonda yabagamba nti: “Wadde nga musaba essaala nnyingi, siziwuliriza; emikono gyammwe gijjudde omusaayi.” (Isaaya 1:15) Naye singa abantu abo baakyusa enneeyisa yaabwe ne bakola ebyo Katonda by’ayagala, Katonda yandibadde awuliriza essaala zaabwe.—Isaaya 1:18.