Biki Bye Nnyinza Okusaba?
Bayibuli ky’egamba
Osobola okusaba ekintu kyonna kasita kiba nga kituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Bayibuli egamba nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo [Katonda] by’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) Osobola okubuulira Katonda ebyo ebikweraliikiriza? Yee. Bayibuli egamba nti: “[Katonda] mumubuulire ebibali ku mitima.”—Zabbuli 62:8.
Ebimu ku bintu by’osobola okusaba
Okuba n’okukkiriza okunywevu.—Lukka 17:5.
Omwoyo omutukuvu gukuyambe okukola ekituufu.—Lukka 11:13.
Amaanyi okusobola okugumira ebizibu oba okulwanyisa ebikemo.—Abafiripi 4:13.
Okufuna emirembe mu mutima.—Abafiripi 4:6, 7.
Amagezi okusobola okusalawo obulungi.—Yakobo 1:5.
Katonda akuyambe okufuna ebyetaago by’obulamu.—Matayo 6:11.
Okusonyiyibwa ebibi.—Matayo 6:12.