Buuka ogende ku bubaka obulimu

Amateeka Ekkumi Ge Galuwa?

Amateeka Ekkumi Ge Galuwa?

Bayibuli ky’egamba

 Amateeka Ekkumi ge mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri ery’edda. Amateeka ago era gayitibwa Ebigambo Ekkumi, ekiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ʽaseʹreth had·deva·rimʹ nga kivvuunuddwa butereevu. Ekigambo ekyo kirabika emirundi esatu mu bitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli. (Okuva 34:28; Ekyamateeka 4:13; 10:4) Mu Luyonaani, kivvuunulwa nti, deʹka (kkumi) loʹgous (ebigambo), ebyavaamu ekigambo “Decalogue,” ekitegeeza Amateeka Ekkumi.

 Katonda yawandiika Amateeka Ekkumi ku bipande by’amayinja bibiri n’abiwa nnabbi Musa ku Lusozi Sinaayi. (Okuva 24:12-18) Amateeka Ekkumi gasangibwa mu Okuva 20:1-17 ne Ekyamateeka 5:6-21.

 Olukalala lw’Amateeka Ekkumi

  1.   Sinzanga Yakuwa Katonda yekka.—Okuva 20:3.

  2.   Tosinzanga bifaananyi.—Okuva 20:4-6.

  3.   Tokozesanga linnya lya Katonda mu ngeri etasaana.—Okuva 20:7.

  4.   Okwatanga Ssabbiiti.—Okuva 20:8-11.

  5.   Bazadde bo obassangamu ekitiibwa.—Okuva 20:12.

  6.   Tottanga.—Okuva 20:13.

  7.   Toyendanga.—Okuva 20:14.

  8.   Tobbanga.—Okuva 20:15.

  9.   Towaayirizanga.—Okuva 20:16.

  10.   Teweegombanga bintu bya munno.—Okuva 20:17.

 Lwaki ensengeka y’Amateeka Ekkumi eyawukana?

 Mu Bayibuli, amateeka ago tegateekeddwako nnamba. N’olw’ensonga eyo, waliwo endowooza ez’enjawulo ku ngeri amateeka ago gye galina okusengekebwamu. Gatera okusengekebwa nga bwe kiragiddwa waggulu. Naye abamu bagasengeka mu ngeri ya njawulo. Enjawulo eri mu kifo etteeka erisooka, ery’okubiri, n’erisembayo we gateekebwa. a

 Amateeka Ekkumi Gaalina Kigendererwa Ki?

 Amateeka Ekkumi ge gamu ku mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri okuyitira mu Musa. Amateeka ago gaali gasukka mu 600, era ye yali endagaano Katonda gye yakola n’eggwanga lya Isirayiri ery’edda. (Okuva 34:27) Katonda yagamba Abayisirayiri nti bandibadde bulungi singa bagoberera amateeka ago. (Ekyamateeka 28:1-14) Kyokka, ekigendererwa ekikulu eky’Amateeka kyali kya kuteekateeka Abayisirayiri basobole okulindirira Masiya, oba Kristo.—Abaggalatiya 3:24.

 Abakristaayo balina okukwata Amateeka Ekkumi?

 Nedda. Okusingira ddala, Amateeka, nga mw’otwalidde n’Amateeka Ekkumi, Katonda yagawa ggwanga lya Isirayiri ery’edda. (Ekyamateeka 5:2, 3; Zabbuli 147:19, 20) Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ago, era n’Abayudaaya abaafuuka Abakristaayo ‘baasumululwa okuva mu Mateeka.’ (Abaruumi 7:6) b “Etteeka lya Kristo” lye lyadda mu kifo ky’amateeka ago. Lizingiramu ebintu byonna Yesu bye yalagira abagoberezi be okukola.—Abaggalatiya 6:2; Matayo 28:19, 20.

 Amateeka Ekkumi gakyali ga mugaso?

 Yee. Olw’okuba Amateeka Ekkumi gooleka endowooza ya Katonda ku bintu ebitali bimu, tusobola okuganyulwa bwe tugasoma. (2 Timoseewo 3:16, 17) Amateeka Ekkumi geesigamiziddwa mu misingi egitasobola kuva ku mulembe. (Zabbuli 111:7, 8) Mu butuufu, enjigiriza eziri mu Ndagaano empya zeesigamiziddwa ku misingi egyo.—Laba ekitundu, “ Emisingi egiri mu Mateeka Ekkumi egiragibwa mu Ndagaano Empya.”

 Yesu yayigiriza nti amateeka gonna Katonda ge yawa Abayisirayiri, nga mw’otwalidde n’Amateeka Ekkumi, geesigamye ku mateeka gano abiri amakulu: “‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.’ Ku mateeka gano abiri Amateeka gonna ne Bannabbi kwe byesigamye.” (Matayo 22:34-40) N’olwekyo, wadde ng’Abakristaayo tekibakakatako kukwata Mateeka, balagirwa okwagala Katonda ne bantu bannaabwe.—Yokaana 13:34; 1 Yokaana 4:20, 21.

  Emisingi egiri mu Mateeka Ekkumi egiragibwa mu Ndagaano Empya

Omusingi

Ekyawandiikibwa mu Ndagaano Empya

Sinza Yakuwa Katonda yekka

Okubikkulirwa 22:​8, 9

Tosinza bifaananyi

1 Abakkolinso 10:14

Erinnya lya Katonda liwe ekitiibwa

Matayo 6:9

Sinza Katonda obutayosa

Abebbulaniya 10:24, 25

Bazadde bo basseemu ekitiibwa

Abeefeso 6:​1, 2

Tottanga

1 Yokaana 3:​15

Toyendanga

Abebbulaniya 13:4

Tobbanga

Abeefeso 4:​28

Tolimbanga

Abeefeso 4:​25

Teweegomba bintu bya munno

Lukka 12:15

a Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The Jewish Encyclopedia, ensengeka y’Ekiyudaaya “efuula Okuva 20:2 okuba etteeka erisooka, ate olunyiriri 3-6 zitwalibwa okuba etteeka ery’okubiri.” Ku luuyi olulala, Abakatuliki batwala Okuva essuula 20, olunyiriri 1-6, okuba etteeka limu. Bwe kityo, etteeka erikwata ku butawa linnya lya Katonda kitiibwa lye batwala ng’etteeka ery’okubiri. Okusobola okufuna omuwendo omujjuvu ogw’amateeka ago, baawulamu etteeka erisembayo ne gaba abiri; obuteegomba mukazi wa munno, n’obuteegomba bintu bya munno.

b Abaruumi 7:7 wakozesa etteeka ery’ekkumi ng’ekyokulabirako ‘ky’Amateeka,’ ekiraga nti mu mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri mwalimu n’Amateeka Ekkumi.