Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bbomu eya nukiriya ng’ebwatuse.

BEERA BULINDAALA!

Bannabyabufuzi Balabula nti Olutalo Amagedoni Lunaatera Okubaawo—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Bannabyabufuzi Balabula nti Olutalo Amagedoni Lunaatera Okubaawo—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Ku Mmande ku makya, nga 10 Okitobba, 2022, Russia yasindika ebikompola ne bikuba ebibuga ebitali bimu mu Ukraine. Ekyo yakikola nga yeesasuza olwa bbomu ez’amaanyi azaabwatuka ne zikuba olutindo olugatta Crimea ne Russia ennaku bbiri emabega. Ebyo byaliwo ekiseera kitono oluvannyuma lwa bannabyabufuzi okulabula nti wanaatera okubaawo olutalo Amagedoni.

  •   “Abantu balowooza nti ensi yayolekaganako n’olutalo Amagedoni mu kiseera ky’omufuzi wa Amerika John F. Kennedy, Soviet Union bwe yagezaako okuleeta mizayiro mu Cuba. Ekintu ng’ekyo kibadde tekibangawo nate. . . . Sisuubira nti kisoboka okukozesa ebyokulwanyisa ebya nukiriya ne kitaviirako lutalo Amagedoni.” Bw’atyo Pulezidenti wa Amerika Joe Biden, bwe yayogera nga 6 Okitobba, 2022.

  •   “Nzikiriza nti mangu ddala olutalo Amagedoni luyinza okubaawo, ekintu ekijja okuba eky’akabi eri ensi yonna.” Bw’atyo pulezidenti wa Ukraine Volodymyr Zelensky, bwe yagamba ng’abuuziddwa aba BBC News ku ky’okukozesa ebyokulwanyisa ebya nukiriya. Yabyogera nga 8 Okitobba, 2022.

 Okukozesa eby’okulwanyisa ebya nukiriya kinaaviirako olutalo Amagedoni? Ekyo Bayibuli ekyogerako ki?

Okukozesa ebyokulwanyisa ebya nukiriya kinaaviirako olutalo Amagedoni?

 Nedda. Ekigambo “Amagedoni” kisangibwa omulundi gumu gwokka mu Bayibuli mu Okubikkulirwa 16:16. Ekigambo ekyo tekitegeeza lutalo wakati w’amawanga; kitegeeza lutalo olujja okubaawo wakati wa Katonda ne “bakabaka b’ensi yonna.” (Okubikkulirwa 16:14) Ku lutalo Amagedoni katonda ajja kuggyawo obufuzi bw’abantu.—Danyeri 2:44.

 Okumanya ebisingawo ebikwata ku Amagedoni, soma ekitundu Olutalo Amagedoni kye Ki?

Okukozesa ebyokulwanyisa ebya nukiriya kinaaviirako ensi n’abantu abagiriko okusaanawo?

 Nedda. Wadde nga abafuzi b’ensi bayinza okukozesa ebyokulwanyisa ebya nukiriya, Katonda tajja kukkiriza nsi kusaanawo. Bayibuli egamba nti:

  •   “Ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.”—Omubuulizi 1:4.

  •   “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.

 Kyokka obunnabbi bwa Bayibuli n’ebyo ebiriwo mu nsi biraga nti wanaatera okubaawo enkyukakyuka ey’amaanyi. (Matayo 24:3-7; 2 Timoseewo 3:1-5) Manya ekyo Bayibuli ky’egamba ku biseera eby’omu maaso okuyitira mu nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli.