Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Owulira nti Katonda Takufaako?

Owulira nti Katonda Takufaako?

“LWAKI nze gwe kituuseeko? Lwaki Katonda alese ekizibu kino okuntuukako?” Ebyo bye bibuuzo omuvubuka ayitibwa Sidnei ow’emyaka 24, abeera mu Brazil bye yeebuuza. Yagwa ku kabenje n’alemala, n’aba nga wa kutambulira mu kagaali k’abalema obulamu bwe bwonna.

Abantu abamu bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi gamba ng’okugwa ku kabenje, okulwala, okufiirwa, okukosebwa akatyabaga, oba entalo, bayinza okulowooza nti Katonda tabafaako. Kya bulijjo omuntu okuwulira bw’atyo. Ne Yobu omuweereza wa Katonda eyaliwo mu biseera eby’edda naye yawulira bw’atyo bwe yafuna ebizibu eby’amaanyi. Olw’okuba yali tamanyi nsibuko ya bizibu ebyo, yanenya Katonda ng’agamba nti: “Nkukaabira so tonziramu: Nnyimirira, n’ontunuulira. Okyuse okuba omukambwe gye ndi: olw’amaanyi ag’omukono gwo onjigganya.”​—Yobu 30:20, 21.

Yobu yali tamanyi nsonga lwaki yali abifuna ebizibu. Eky’essanyu, ffe Bayibuli etubuulira ensonga lwaki ebizibu ng’ebyo biyinza okututuukako era n’engeri gye tusaanidde okubikwatamu.

KATONDA AYAGALA TUBONEEBONE?

Bayibuli eyogera bw’eti ku Katonda: “By’akola bituukiridde, amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; mutuukirivu era mwenkanya.” (Ekyamateeka 32:4, NW) Kati olwo kiba kituufu okulowooza nti Katonda ‘omutuukirivu era omwenkanya’ ayagala abantu baboneebone oba nti abaleetera ebizibu asobole okubagezesa alabe obanga bamwagala?

N’akatono, kubanga Bayibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’agezesebwanga tagambanga nti: ‘Katonda y’angezesa.’ Kubanga Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna.” (Yakobo 1:13) Mu butuufu, Bayibuli eraga nti Katonda yatonda abantu babeere mu bulamu obulungi. Yawa abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa, amaka agalabika obulungi, ebintu byonna bye baali beetaaga, era n’omulimu ogwandibaleetedde essanyu. Katonda yabagamba nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” Adamu ne Kaawa tebaalina nsonga yonna yandibaleetedde kulowooza nti Katonda tabafaako.​—Olubereberye 1:28

Naye leero embeera nzibu nnyo. Okumala emyaka mingi abantu babonyeebonye nnyo. Bayibuli egamba nti: “N’okutuusa kati ebitonde bisindira wamu era birumirwa wamu.” (Abaruumi 8:22) Kiki ekyasoba?

LWAKI ABANTU BABONAABONA?

Okusobola okumanya ensonga lwaki waliwo okubonaabona, tusaanidde okumanya engeri gye kwatandikamu. Malayika omubi ayitibwa Sitaani, yasendasenda Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda. Katonda yali abateereddewo omutindo gw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu era ekyo yakiraga ng’abagaana okulya ku ‘muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi.’ Sitaani yagamba Kaawa nti bwe bandijeemedde Katonda tebandifudde. Mu kwogera ebyo, yalinga agamba nti Katonda mulimba. Sitaani era yanenya Katonda olw’obutawa bantu ddembe lya kwesalirawo kituufu na kikyamu. (Olubereberye 2:17; 3:1-6) Sitaani yalinga ategeeza nti abantu bandibadde bulungi nga tebafugibwa Katonda. Ebyo byonna byaleetawo ekibuuzo kino ekikulu: Katonda y’agwanidde okufuga?

Sitaani era yagamba nti abantu baweereza Katonda olw’okuba alina by’abawa. Sitaani bwe yali ayogera ku Yobu, omusajja eyali omwesigwa, yagamba Katonda nti: “Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye ne byonna by’alina, enjuyi zonna? . . . Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by’alina, kale alikwegaanira mu maaso go.” (Yobu 1:10, 11) Wadde ng’ebigambo ebyo Sitaani yabyogera ku Yobu, Sitaani yalaga nti abantu baweereza Katonda olw’okuba alina by’abawa.

KATONDA YANDIGONJODDE ATYA OKUSOOMOOZA OKWO?

Katonda yandigonjodde atya okusoomooza okwo Sitaani kwe yaleetawo? Olw’okuba Katonda alina amagezi mangi, yali amanyi engeri esingayo obulungi gye yandigonjoddemu ensonga ezo. (Abaruumi 11:33) Yasalawo okuleka abantu okwefuga bokka okumala ekiseera era ebyo ebivuddemu biraga nti y’agwanidde okufuga abantu.

Embeera embi eri mu nsi leero eraga nti obufuzi bw’abantu bulemereddwa. Ng’oggyeeko okuba nti gavumenti z’abantu ziremereddwa okuleeta essanyu, emirembe, n’obutebenkevu, era zoonoonye ensi. Ekyo kikwatagana bulungi n’ebigambo bino ebiri mu Bayibuli: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Obufuzi bwa Katonda bwe bwokka obusobola okuleetera abantu emirembe, essanyu, n’obutebenkevu ebya nnamaddala, kubanga ekyo kye kigendererwa kya Katonda.​—Isaaya 45:18.

Kati olwo, Katonda anaatuukiriza atya ekigendererwa kye ekyo? Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Katonda ajja kuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona ng’ayitira mu Bwakabaka bwe. (Danyeri 2:44) Obwavu, obulwadde, n’okufa, byonna bijja kuggwaawo. Bwe kituuka ku bwavu, Bayibuli egamba nti Katonda ajja ‘kusaasira abaavu.’ (Zabbuli 72:12-14) N’obulwadde bujja kuggwaawo. Bayibuli egamba nti: “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) Ate abo abaafa? Yesu yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Ebisuubizo ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi!

Bwe tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda, tetujja kuggwaamu maanyi

EBINAATUYAMBA OBUTAGGWAAMU MAANYI

Oluvannyuma lw’emyaka 17, Sidnei eyayogeddwako ku ntandikwa yagamba nti: “Sinenyangako Yakuwa Katonda olw’akabenje ke nnafuna, naye ekituufu kiri nti mu kusooka nnalowooza nti yali tanfaako. Ebiseera ebimu mba mwennyamivu nnyo, era nkaaba bwe ndowooza ku bulemu bwe nnafuna. Naye Bayibuli ennyambye okukitegeera nti akabenje ke nnafuna tekyali kibonerezo okuva eri Katonda. Bayibuli egamba nti ‘ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bitutuukako ffenna.’ Okusaba Yakuwa n’okusoma ebyawandiikibwa ebikwata ku mbeera gyendimu binnnyambye okusigala nga ndi munywevu mu by’omwoyo n’obutaggwaamu maanyi.”​—Omubuulizi 9:11; Zabbuli 145:18; 2 Abakkolinso 4:8, 9, 16.

Okujjukira ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona era n’engeri gye kujja kuggibwawo kituzzaamu nnyo amaanyi. Bayibuli etukakasa nti Katonda “awa empeera abo abafuba okumunoonya.” Tewali n’omu akkiririza mu Katonda awamu ne mu Yesu aliggwaamu amaanyi.​—Abebbulaniya 11:6; Abaruumi 10:11.