Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Tusobola Okusanyusa Katonda?

Ddala Tusobola Okusanyusa Katonda?

Wali osomyeko ku bantu abaakola ebintu ebirungi aboogerwako mu Bayibuli n’ogamba nti, ‘Nze sisobola kuba nga bo!’? Oyinza okugamba nti, ‘Situukiridde, era ebiseera ebisinga sikola kituufu.’

Yobu yali ‘atya Katonda ne yeewala obubi.’Yobu 1:1

Yobu, omuweereza wa Katonda eyaliwo edda, ayogerwako ng’omusajja eyali ‘atya Katonda ne yeewala obubi.’ (Yobu 1:1) Lutti yali ayitibwa ‘omusajja omutuukirivu.’ (2 Peetero 2:8) Ate ye Dawudi ayogerwako ng’oyo ‘eyakola ebyo ebyali ebirungi’ mu maaso ga Katonda. (1 Bassekabaka 14:8) Naye, ka twetegereze ebikwata ku bantu bano aboogerwako mu Bayibuli. Tujja kukiraba nti (1) baakola ensobi, (2) tulina bingi bye tuyinza okubayigirako, ne (3) abantu abatatuukiridde basobola okukola ebintu ebisanyusa Katonda.

BAAKOLA ENSOBI

“[Katonda] yawonya Lutti omutuukirivu eyali anyolwa ennyo olw’ebikolwa eby’obugwenyufu eby’abantu abajeemu.”2 Peetero 2:7

Yobu yabonaabona olw’ebizibu eby’amaanyi bye yafuna era ekyo kyalabika ng’ekitali kya bwenkanya. Yafuna endowooza enkyamu nti ne bwe yandisigadde nga mwesigwa eri Katonda oba ne bw’atandikikoze, Katonda yali tamufaako. (Yobu 9:20-22) Yobu yali yeetwala okuba omutuukirivu ennyo, abalala ne batuuka n’okugamba nti yali yeeyita mutuukirivu okusinga Katonda.Yobu 32:1, 2; 35:1, 2.

Lutti yali munakuwavu era ‘yalumwanga nnyo’ olw’ebikolwa eby’obugwenyufu eby’abantu b’omu Sodomu ne Ggomola. (2 Peetero 2:8) Katonda yalangirira nti agenda kuzikiriza ebibuga ebyo ebyalimu abantu ababi era n’awa Lutti n’ab’omu maka ge omukisa ogw’okununulibwa. Wandisuubidde nti Lutti eyali omunakuwavu ennyo ye yandisoose okufuluma ekibuga, kyokka yalwawo okusalawo. Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, Lutti yadda mu kwekunya. Bamalayika abaatumibwa okununula Lutti n’ab’omu maka ge baalina okubakwata ku mikono ne babafulumya mu kibuga baleme kuzikirizibwa.Olubereberye 19:15, 16.

Dawudi ‘yagoberera [Katonda] n’omutima gwe gwonna era yakola ebyo byokka ebyali ebirungi’ mu maaso ga Katonda.1 Bassekabaka 14:8

Dawudi yalemererwa okwefuga n’ayenda ku mukyala wa Uliya. Eky’ennaku, Dawudi yagezaako okukweka ekibi kye ng’atta Uliya. (2 Samwiri, essuula 11) Bayibuli egamba nti ekyo “Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama.”2 Samwiri 11:27.

Yobu, Lutti, ne Dawudi baakola ensobi, era ezimu zaali za maanyi nnyo. Naye nga bwe tugenda okulaba, baali bawulize eri Katonda baamuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Beenenya ensobi zaabwe era ne bakyusaamu we kyali kyetaagisa. N’olw’ensoga eyo, Katonda yabalaga ekisa era mu Bayibuli boogerwako ng’abasajja abeesigwa.

BIKI BYE TUBAYIGIRAKO?

Olw’okuba tetutuukiridde, tetusobola kwewala kukola nsobi. (Abaruumi 3:23) Naye bwe tukola ensobi, tusaanidde okwenenya era ne tukola kyonna ekisoboka okutereeza ensobi.

Yobu, Lutti, ne Dawudi baatereeza batya ensobi zaabwe? Yobu yali musajja mugolokofu. Katonda bwe yamala okwogera naye, Yobu yatereeza endowooza ye era n’amenyawo ebyo bye yayogera. (Yobu 42:6) Endowooza Lutti gye yalina ku bikolwa eby’obugwenyufu eby’abantu b’omu Sodomu ne Ggomola yali ekwatagana n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Ekizibu Lutti kye yalina kyali kya butakolera ku bulagirizi bwa Katonda mu bwangu. Oluvannyuma yava mu kibuga mu bwangu n’awona okuzikirizibwa. Olw’okuba yali muwulize teyatunula mabega kulaba bye yali alese. Wadde nga Dawudi yakola ensobi ey’amaanyi n’amenya etteeka lya Katonda, yayoleka ekyali mu mutima gwe nga yeenenya mu bwesimbu era ng’asaba Katonda amusaasire.Zabbuli 51.

Engeri Katonda gye yayisaamu abantu abo eraga nti si mukakanyavu bwe kituuka ku ebyo abantu abatatuukiridde bye bakola. Katonda “amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) Bwe kiba nti Katonda akimanyi nti tetusobola kwewala kukola nsobi, kiki ky’atusuubiramu?

Katonda “amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.”Zabbuli 103:14

ABANTU ABATATUUKIRIDDE BAYINZA BATYA OKUSANYUSA KATONDA?

Engeri Kabaka Dawudi gye yabuuliriramu mutabani we Sulemaani etuyamba okumanya engeri gye tusobola okukola ebyo ebisanyusa Katonda. Yamugamba nti: “Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima ogutuukiridde.” (1 Eby’omumirembe 28:9) Kitegeeza ki okuba n’omutima ogutuukiridde? Kitegeeza okwagala Katonda n’okuba omumalirivu okukola by’ayagala. Omuntu alina omutima bwe gutyo aba ayagala nnyo okuweereza Katonda era aba mwetegefu okutereeza we kiba kyetaagisa. Yobu, Lutti ne Dawudi baali baagala nnyo Katonda era nga bawulize. Eyo ye nsonga lwaki Yobu ayogerwako ng’omusajja eyali “atya Katonda,” Lutti ayogerwako ng’omusajja “omutuukirivu,” ne Dawudi ng’oyo ‘eyakola ebyo byokka ebyali ebirungi’ mu maaso ga Katonda. Wadde nga baakola ensobi, baakola ebisanyusa Katonda.

Okuba n’omutima ogutuukiridde kitegeeza okwagala Katonda n’okuba omumalirivu okukola by’ayagala

N’olwekyo, bwe tuba n’endowooza enkyamu, bwe twogera ebintu ebiswaza, oba bwe tukola ekintu ekikyamu, tusaanidde okuyigira ku bantu abo aboogeddwako waggulu. Katonda akimanyi nti tetutuukiridde. Naye atusuubira okumwagala n’okumugondera. Bwe tuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna, tusobola okuba bakakafu nti tujja kumusanyusa.