Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Omuliro gwatambuzibwanga gutya mu biseera by’edda?

OLUBEREBERYE 22:6 walaga nti Ibulayimu bwe yali ateekateeka okugenda mu kitundu ekyesudde okuwaayo ssaddaaka, yaddira “enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka mutabani we Isaaka, ye n’akwata omuliro n’akambe, bombi ne bagenda.”

Ebyawandiikibwa tebiraga ngeri omuliro gye gwakumibwangamu edda. Ng’ayogera ku ekyo ekyaliwo nga Ibulayimu agenda okuwaayo ssaddaaka, omwekenneenya wa Bayibuli omu agamba nti: “Tekiyinzika kuba nti Ibulayimu ne Isaaka baasobola okutambula olugendo olwo lwonna nga balina omuliro ogwaka.” N’olwekyo, Bayibuli okugamba nti ‘Ibulayimu yakwata omuliro,’ eyinza okuba ng’etegeeza ekintu Ibulayimu kye yakozesa okukuma omuliro ng’atuuse gye baali bagenda.

Abamu bagamba nti mu biseera eby’edda, tekyabanga kyangu n’akamu kukuma muliro. N’olwekyo, abantu bwe baabanga tebannakuma muliro baasookanga kulaba obanga basobola okufuna amanda agaliko omuliro ku muliraano. Eyo ye nsonga lwaki abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti omuliro Ibulayimu gwe yatwala, gaali manda agaaliko omuliro ge yatwalira mu kibya ekiriko akajegere. (Is. 30:14) Kyabanga kyangu abantu okukozesa amanda agaliko omuliro agaatambuzibwanga mu ngeri ng’eyo, okukuma omuliro wonna we baabanga baagalidde nga bali ku lugendo.