Abafu Baliddamu Okuba Abalamu?
Okufa tekwewalika. Naye omuntu bw’afa ebibye biba bikomye? Abantu abaafa Katonda yabeerabira? Waliwo essuubi lyonna nti basobola okuddamu okuba abalamu?
WEETEGEREZE BAYIBULI KY’EGAMBA:
ABANTU ABAAFA KATONDA TEYABEERABIRA
‘Bonna abali mu ntaana balivaamu.’—Yokaana 5:28, 29.
Katonda ajjukira abantu abaafa, era ajja kubazuukiza baddemu okuba abalamu.
BAJJA KUZUUKIRA BABEERA KU NSI
“Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.
Obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa bajja kuzuukizibwa babeera ku nsi emirembe gyonna.
OKUZUUKIRA KWA DDALA
“[Katonda] abala emmunyeenye; zonna aziyita amannya gaazo.”—Zabbuli 147:4.
Eky’okuba nti Katonda asobola okumanya amannya g’emmunyeenye zonna, kiraga nti asobola okujjukira abantu abaafa n’abazuukiza.