OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira nga Tukozesa Essimu oba Kamera Eziba ku Bizimbe
LWAKI KIKULU?: Olw’enkulaakulana eyeeyongedde mu bya tekinologiya n’olw’okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka, abantu bangi batadde kamera n’essimu ku mayumba gaabwe. Tuyinza okutya okubuulira omuntu gwe tutalaba ate nga ye atulaba. Obulagirizi buno bujja kutuyamba okweyongera okuba abavumu nga tubuulira abantu abalina kamera oba essimu ku mayumba gaabwe.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Abantu bangi ababeera ne kamera oba essimu ku mayumba gaabwe bakkiriza okwogera naffe
-
Kijjukire nti kamera ezimu zitandika okukukwata nga tonnaba na kunyiga kadde, era nnyinimu aba akulaba era ng’akuwulira
-
Nnyinimu bw’akuddamu, yogera ng’olinga ayogera naye maaso ku maaso. Teekako akamwenyumwenyu era kozesa ebitundu by’omubiri gwo mu ngeri eya bulijjo. Yogera ebyo bye wateeseteese okwogera ng’osanze omuntu awaka. Bw’oba oyogera, tosemberera nnyo kamera. Nnyinimu bw’atabaako ky’ayogera tolekaawo kintu kyonna
-
Ne bw’oba omaze okwogera ne nnyinimu, kijjukire nti aba akyasobola okukulaba era n’okuwulira by’oyogera bw’oba okyali kumpi n’ennyumba ye