OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Noovemba 2016
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Omunaala gw’Omukuumi, n’okubuulira amazima agakwata ku bunnabbi obuli mu Bayibuli. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Bayibuli Ennyonnyola Omukyala Omulungi bw’Abeera
Mwannyinaffe Omufumbo Asaanidde Kuba na Ngeri Ki Ennungi?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Omwami We Amanyiddwa ku Miryango gy’Ekibuga”
Omukyala omulungi aweesa omwami we ekitiibwa.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Weeyagalire mu Ebyo Byonna by’Oteganira
Tusobola okunyumirwa emirimu gye tukola singa tuba n’endowooza ennuŋŋamu.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri y’Okukozesa Akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Tuyinza kukozesa tutya ebitundu eby’enjawulo ebiri mu katabo Bye Tuyiga nga tuyigiriza omuntu Bayibuli?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Jjukiranga Omutonzi Wo ow’Ekitalo ng’Okyali Muvubuka”
Omubuulizi 12 watukubiriza okuweeraza Katonda nga tukyali bavubuka.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abavubuka—Temulwawo Kweteerawo Biruubirirwa eby’Omwoyo
Osobola okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo gamba ng’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Omuwala Omusunamu Yassaawo Ekyokulabirako Ekirungi
Abaweereza ba Yakuwa bayinza batya okukoppa omuwala Omusunamu?