Agusito 31–Ssebutemba 6
OKUVA 21-22
Oluyimba 141 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Obulamu Butwale nga Yakuwa bw’Abutwala”: (Ddak. 10)
Kuv 21:20—Yakuwa avumirira ettemu (it-1-E lup. 271)
Kuv 21:22, 23—N’obulamu bw’omwana atannazaalibwa Yakuwa abutwala nga bwa muwendo (lvs lup. 95 ¶16)
Kuv 21:28, 29—Yakuwa tayagala tusse bulamu bwaffe n’obw’abalala mu kabi (w10 4/15 lup. 29 ¶4)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kuv 21:5, 6—Ennyiriri zino ziraga zitya emiganyulo egiri mu kwewaayo eri Yakuwa? (w10 1/15 lup. 4 ¶4-5)
Kuv 21:14—Olunyiriri luno luyinza kunnyonnyolwa lutya? (it-1-E lup. 1143)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 21:1-21 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muyite ajje mu nkuŋŋaana. (th essomo 2)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Beera ng’amulaga vidiyo, Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo. (th essomo 20)
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w09 7/1 lup. 32—Omutwe: Yakuwa Ye Kitaawe w’Abaana Abatalina Bakitaabwe. (th essomo 19)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Obulamu Butwale nga Bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Buzibu ki obuyinza okubaawo ng’omukyala ali lubuto? Ebiri mu Okuva 21:22, 23 bikwata bitya ku kuggyamu olubuto? Lwaki kyetaagisa okuba n’okukkiriza n’obuvumu okusobola okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa? Essuubi ly’okuzuukira litubudaabuda litya?
Engeri Okwewaayo Gye Kutuganyulamu: (Ddak. 5) Kwogera nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 15, 2010, olupapula 4, akatundu 4-7. Kubiriza abayizi ba Bayibuli okukulaakulana okutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 130
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 15 n’Okusaba