Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Agusito 24-30

OKUVA 19-20

Agusito 24-30

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Engeri Amateeka Ekkumi Gye Gakukwatako”: (Ddak. 10)

    • Kuv 20:3-7​—Yakuwa musseemu ekitiibwa era mwemalireko (w89-E 11/15 lup. 6 ¶1)

    • Kuv 20:8-11​—Kulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwo

    • Kuv 20:12-17​—Wa abantu abalala ekitiibwa (w89-E 11/15 lup. 6 ¶2-3)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • Kuv 19:5, 6​—Lwaki eggwanga lya Isirayiri lyafiirwa enkizo ey’okufuuka “obwakabaka bwa bakabona”? (it-2-E lup. 687 ¶1-2)

    • Kuv 20:4, 5​—Mu ngeri ki Yakuwa gy’abonereza abaana n’abazzukulu “olw’ensobi za bakitaabwe”? (w04 4/1 lup. 11 ¶1)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 19:1-19 (th essomo 10)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 91

  • Nnyinza Ntya Okufuna Eddembe Erisingako?: (Ddak. 6) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo ya bukatuuni. Oluvannyuma buuza abaana ebibuuzo bino: Oyinza otya okuleetera bazadde bo okwongera okukwesiga? Kiki ky’osaanidde okukola ng’okoze ensobi? Lwaki okussa mu bazadde bo ekitiibwa kikulu nnyo bw’oba ow’okufuna eddembe erisingako?

  • Ssa Ekitiibwa mu Bazadde Bo Abakaddiye: (Ddak. 9) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Kusoomoozebwa ki okuyinza okubaawo ng’abazadde bagenda bakaddiwa? Lwaki ab’omu maka basaanidde okuba n’empuliziganya ennungi nga basalawo engeri gye banaalabiriramu bazadde abakaddiye? Abaana bayinza batya okulaga nti bawa bazadde baabwe ekitiibwa nga babalabirira?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 129, akas. “Engeri gye Baakubangamu Abantu

  • Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)

  • Oluyimba 13 n’Okusaba