Abasajja Abeetoowaze Batendeka Abalala era ne Babawa Obuvunaanyizibwa
Ab’oluganda abalina obumanyirivu bwe batendeka ab’oluganda abavubuka, baba boolese obwetoowaze, okwagala era baba booleka amagezi. Ekyo bayinza kukikola batya?
-
Ab’oluganda abakulaakulana mu by’omwoyo mubawe obuvunaanyizibwa obusingako mu kibiina
-
Mubannyonnyole bulungi engeri gye bayinza okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa obuba bubaweereddwa
-
Mubawe bye beetaaga okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, gamba ng’eby’okukozesa, ssente, n’obuyambi obulala
-
Laba gw’otendeka w’atuuse, era kirage nti omwesiga
WEEBUUZE, ‘Buvunaanyizibwa ki bwe nsobola okukwasa abalala?’