ESSUULA 10
Yesu Asinga Badayimooni Amaanyi
OJJUKIRA ensonga lwaki omu ku bamalayika ba Katonda yafuuka Sitaani Omulyolyomi?— Yali ayagala okusinzibwa era ekyo kye kyamuleetera okujeemera Katonda. Waliwo bamalayika abalala abaafuuka abagoberezi ba Sitaani?— Yee, weebali. Bayibuli ebayita ‘bamalayika ba Sitaani,’ oba badayimooni.—Okubikkulirwa 12:9.
Ddala bamalayika bano ababi, oba badayimooni, bakkiririza mu Katonda?— Bayibuli egamba nti, ‘Badayimooni bakkiriza nti Katonda waali.’ (Yakobo 2:19) Naye mu kiseera kino bali mu kutya okw’amaanyi. Kiri bwe kityo kubanga bakimanyi nti Katonda ajja kubabonereza olw’ebintu ebibi bye baakola. Biki bye baakola?—
Bayibuli egamba nti bamalayika abo baaleka ebifo byabwe mu ggulu ne bajja mu nsi babeere ng’abantu. Kino baakikola kubanga baali baagala okwegatta n’abakazi abalabika obulungi ku nsi. Olubereberye 6:1, 2; Yuda 6) Kiki ky’omanyi ku kwegatta?—
(Okwegatta kubaawo omusajja n’omukazi bwe beebaka awamu mu ngeri ey’enjawulo. Oluvannyuma, omwana atandika okukulira mu lubuto lwa maama we. Naye kiba kikyamu bamalayika okwegatta. Katonda ayagala omusajja n’omukazi abafumbo bokka be baba beegatta. Mu ngeri eyo omwana bw’azaalibwa, omwami n’omukyala baba basobola okumulabirira.
Bamalayika bwe beeyambaza emibiri gy’abantu ne beegatta n’abakazi ku nsi, abaana be baazaala baakula ne bafuuka bawagguufu. Baali bakambwe nnyo era baayisanga bubi nnyo bantu. N’olwekyo Katonda yaleeta amataba ag’amaanyi ne gazikiriza abantu abo abawagguufu n’abantu bonna ababi. Naye yali alagidde Nuuwa okuzimba eryato okusobola okuwonyaawo abantu abatonotono abaali bakola ebirungi. Omuyigiriza omukulu yagamba nti kikulu nnyo okujjukira ebyaliwo ku Mataba.—Olubereberye 6:3, 4, 13, 14; Lukka 17:26, 27.
Amataba bwe gajja, omanyi ekyatuuka ku bamalayika ababi?— Baalekera awo okukozesa emibiri gye baali beeyambazizza, era ne baddayo mu
ggulu. Naye baali tebakyasobola kubeera bamalayika ba Katonda, n’olwekyo, baafuuka bamalayika ba Sitaani, oba badayimooni. Naye kiki ekyatuuka ku baana baabwe abawagguufu?— Baafiira mu Mataba. Era n’abantu abalala abaali batagondera Katonda baafa.Okuva mu kiseera ky’Amataba, Katonda taddangamu kukkiriza badayimooni kweyambaza mibiri gy’abantu. Naye wadde nga tetusobola kulaba badayimooni, weebali era bakyagezaako okuleetera abantu okukola ebintu ebibi ennyo. Baleese ebizibu bingi nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde. Kiri bwe kityo kubanga baagobebwa mu ggulu ne basuulibwa wano ku nsi.
Omanyi ensonga lwaki tetusobola kulaba badayimooni?— Kubanga bo bantu ba mwoyo. Naye tuli bakakafu nti weebali. Bayibuli egamba nti Sitaani ‘abuzaabuza abantu mu nsi yonna,’ era ne badayimooni be bamuyambako.—Okubikkulirwa 12:9, 12.
Omulyolyomi ne badayimooni be naffe basobola okutubuzaabuza oba okutulimbalimba?— Kituufu, basobola singa tetwegendereza. Naye tetulina kutya. Omuyigiriza Omukulu yagamba nti: ‘Omulyolyomi tanninaako buyinza.’ Singa tunywerera ku Katonda, ajja kutukuuma Omulyolyomi ne badayimooni baleme kutubuzaabuza.—Yokaana 14:30.
Kikulu okumanya ebintu ebibi badayimooni bye bajja okugezaako okutuleetera okukola. Ggwe olowooza otya? Bintu ki ebibi badayimooni bye baakola nga bazze ku nsi?— Ng’Amataba tegannaba kujja, beegatta n’abakazi, ekintu bamalayika kye baali batalina kukola. Leero, badayimooni kibasanyusa nnyo abantu bwe batagondera mateeka ga Katonda agakwata ku by’okwegatta. Ka nkubuuze, Baani bokka abasaanidde okwegatta?— Oli mutuufu, bafumbo bokka.
Leero abalenzi n’abawala abamu abakyali abato beegatta, naye ekyo kikyamu. Bayibuli eraga nti Katonda ye yakola ebitundu eby’ekyama eby’omusajja n’omukazi. Yakuwa yatonda ebitundu ebyo eby’omubiri olw’ekigendererwa eky’enjawulo era ng’abafumbo bokka be
basaanidde okubikozesa mu kwegatta. Kisanyusa nnyo badayimooni abantu bwe bakola ebintu Yakuwa by’atakkiriza. Ng’ekyokulabirako, kisanyusa nnyo badayimooni omulenzi n’omuwala, buli omu bw’azannyisa ebitundu bya munne eby’ekyama. Tetwagala kusanyusa badayimooni, si bwe kiri?—Waliwo ekintu ekirala badayimooni kye baagala naye nga Yakuwa akikyawa. Okimanyi?— Ebikolwa eby’obukambwe. (Zabbuli 11:5) Ebikolwa eby’obukambwe bizingiramu okulwana n’okulumya abalala. Kijjukire nti, n’abantu abawagguufu, abaali abaana ba badayimooni, ekyo kye baakolanga.
Badayimooni era baagala okutiisatiisa abantu. Oluusi beefuula abantu abaafa. Bayinza n’okugeegeenya amaloboozi g’abantu abaafa. Mu ngeri eno, badayimooni baleetera abantu bangi okukkiriza nti abafu balamu era nti basobola okwogera n’abantu abalamu. Yee, badayimooni baleetera abantu bangi okukkiririza mu mizimu.
N’olwekyo tulina okwegendereza ennyo Sitaani 2 Abakkolinso 11:14, 15) Naye ekituufu kiri nti, badayimooni babi nnyo. Ka tulabe engeri gye bayinza okutuleetera okubeera nga bo.
ne badayimooni be baleme okutubuzaabuza. Bayibuli egamba nti: ‘Sitaani ageezaako okwefuula malayika omulungi, era n’abaweereza be bakola kye kimu.’ (Abantu bayigira wa ebikwata ku bikolwa eby’obukambwe, okwegatta okutasaana, n’ebyo ebikwata ku badayimooni n’emizimu?— Tebabiyigira ku programu za ttivi ezimu ne firimu, oba nga bagenze mu bibanda gye balagira firimu oba ku mikwano emibi ku ssomero? Okukola ebintu ebyo kituleetera kuba mikwano gya Katonda oba mikwano gy’Omulyolyomi ne badayimooni be? Olowooza otya?—
Olowooza ani ayagala tuwulirize era tulabe ebintu ebibi?— Yee, Sitaani ne badayimooni be. Kati olwo, ggwe nange kiki kye tulina okukola?— Tulina okusoma, okuwuliriza, n’okulaba ebintu ebirungi era ebisobola okutuyamba okuweereza Yakuwa. Omanyiiyo ebimu ku bintu ebirungi bye tusobola okukola?—
Bwe tukola ebintu ebirungi, kiba tekitwetaagisa kutya badayimooni. Yesu abasinga amaanyi, era bamutya. Lumu badayimooni baayogerera waggulu nga bagamba Yesu nti: “Wajja kutuzikiriza?” (Makko 1:24) Tetuube basanyufu nnyo ng’ekiseera kituuse Yesu okuzikiriza Sitaani ne badayimooni be?— Naye ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, bwe tunaaba n’enkolagana ennungi ne Yesu era ne Kitaawe ow’omu ggulu, Yesu ajja kutukuuma badayimooni baleme okutuleetera okukola ebintu ebibi.
Ka tusome ku ebyo bye tulina okukola, mu 1 Peetero 5:8, 9 ne Yakobo 4:7, 8.