Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 89

Ayigiriza mu Pereya ng’Agenda e Buyudaaya

Ayigiriza mu Pereya ng’Agenda e Buyudaaya

LUKKA 17:1-10 YOKAANA 11:1-16

  • AKABI AKALI MU KWESITTAZA ABALALA

  • SONYIWA ERA YOLEKA OKUKKIRIZA

Yesu amaze akaseera mu kifo ekiyitibwa Pereya ekiri “emitala wa Yoludaani.” (Yokaana 10:40) Kati ayolekedde ebukiikaddyo agenda Yerusaalemi.

Yesu tali yekka. Atambula n’abayigirizwa be era ‘n’ekibiina ekinene,’ ekirimu abasolooza omusolo n’aboonoonyi. (Lukka 14:25; 15:1) Ate era mu kibiina ekyo mulimu Abafalisaayo n’abawandiisi abatakkiriza ebyo Yesu by’ayogera ne by’akola. Balina bingi eby’okulowoozaako oluvannyuma lw’okuwulira ebyo Yesu by’ayogedde mu lugero olukwata ku ndiga eyali ebuze, olukwata ku mwana eyali azaaye, n’olukwata ku musajja omugagga ne Lazaalo.​—Lukka 15:2; 16:14.

Oboolyawo ng’akyalowooza ku ngeri abo abamuziyiza gye babadde bamukudaaliramu, Yesu atandika okwogera n’abayigirizwa be ku nsonga ezimu ze yayigirizaako ng’ali e Ggaliraaya.

Ng’ekyokulabirako, Yesu agamba nti: “Ebyesittaza tebiyinza butajja. Naye zisanze omuntu oyo mwe biba biyitidde! . . . Mwegendereze. Muganda wo bw’akola ekibi, munenye era bwe yeenenya, musonyiwe. Ne bw’akukola ekibi emirundi musanvu olunaku, n’akomawo gy’oli emirundi musanvu ng’agamba nti, ‘Nsonyiwa,’ oteekwa okumusonyiwa.” (Lukka 17:1-4) Ekyo Yesu ky’ayogerako kiyinza okuba nga kijjukiza Peetero ekibuuzo kye yabuuzaako ekikwata ku kusonyiwa okutuuka ku mirundi musanvu.​—Matayo 18:21.

Abayigirizwa banaasobola okukolera ku bigambo bya Yesu ebyo? Bwe bagamba Yesu nti, “Twongere okukkiriza,” abagamba nti: “Singa mubadde mulina okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mwandibadde musobola okugamba omuti guno ogw’enkenene nti, ‘Siguukulukuka weesimbe mu nnyanja!’ ne gubagondera.” (Lukka 17:5, 6) Mu butuufu ne bwe baba n’okukkiriza okutono ennyo, basobola okukola ebintu eby’amaanyi.

Yesu era abayigiriza obukulu bw’okuba abawombeefu n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ng’abagamba nti: “Ani ku mmwe aba n’omuddu alima oba alunda, amugamba ng’akomyewo okuva mu nnimiro nti, ‘Jjangu wano otuule ku mmeeza olye’? Mu kifo ky’ekyo, tamugamba nti ‘Nteekerateekera ekyeggulo, weesibe olugoye ompeereze, okutuusa lwe nnaamaliriza okulya n’okunywa oluvannyuma naawe olyoke olye era onywe’? Anaasiima omuddu oyo olw’okuba akoze ebimulagiddwa? Kale nammwe, bwe muba nga mukoze ebintu byonna ebiba bibalagiddwa, mugambe nti, ‘Tuli baddu abatalina mugaso kutenderezebwa. Kye tukoze kye tubadde tuteekeddwa okukola.’”​—Lukka 17:7-10.

Buli muweereza wa Katonda asaanidde okukimanya nti kikulu okukulembeza ebyo Katonda by’ayagala. Ate era buli omu asaanidde okugitwala nga nkizo ya maanyi okusinza Katonda ng’omu ku abo abali mu nnyumba ye.

Kirabika nga yaakamala okwogera ebyo, omubaka atumiddwa Maliyamu ne Maliza atuuka. Bombi bannyina ba Laazaalo era babeera ku kyalo Bessaniya eky’omu Buyudaaya. Omubaka agamba nti: “Mukama waffe, oyo gw’oyagala ennyo mulwadde.”​—Yokaana 11:1-3.

Wadde nga Yesu akitegedde nti mukwano gwe Laazaalo mulwadde nnyo, ekyo tekimuleetera kwennyamira. Mu kifo ky’ekyo, agamba nti: “Ekigendererwa ky’obulwadde buno si kutta, naye kugulumiza Katonda. Era okuyitira mu bwo Omwana wa Katonda ajja kugulumizibwa.” Yesu asigala mu kitundu ekyo okumala ennaku bbiri oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.” Nga batidde bamugamba nti: “Labbi, emabegako awo Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja, kati ate eyo gy’oyagala okudda?”​—Yokaana 11:4, 7, 8.

Yesu abaddamu nti: “Ekitangaala eky’obudde obw’emisana tekibaawo okumala essaawa 12? Omuntu yenna bw’atambulira mu kitangaala ekyo teyeesittala ku kintu kyonna, kubanga aba alaba ekitangaala ky’ensi eno. Naye omuntu yenna bw’atambula ekiro, yeesittala, kubanga tabaamu kitangaala.” (Yokaana 11:9, 10) Kirabika Yesu ategeeza nti ekiseera Katonda kye yamuwa okubuulira tekinnaggwaako. N’olwekyo, ayagala okukozesa mu bujjuvu ekiseera ekitono ekisigaddeyo.

Yesu agattako nti: “Laazaalo mukwano gwaffe yeebase, naye ŋŋendayo okumuzuukusa.” Kirabika abayigirizwa balowooza nti Laazaalo awummuddeko buwummuzi era nti ajja kuba bulungi. Bagamba Yesu nti: “Mukama waffe, bw’aba yeebase, ajja kuba bulungi.” Yesu abagamba kaati nti: “Laazaalo afudde . . . Naye ka tugende gy’ali.”​—Yokaana 11:11-15.

Wadde nga Tomasi akimanyi nti Yesu bayinza okumuttira e Buyudaaya, awagira ekyo Yesu ky’agambye era agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tusobole okufiira awamu naye.”​—Yokaana 11:16.