Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 104

Abayudaaya Bawulira Eddoboozi lya Katonda—Banaayoleka Okukkiriza?

Abayudaaya Bawulira Eddoboozi lya Katonda—Banaayoleka Okukkiriza?

YOKAANA 12:28-50

  • BANGI BAWULIRA EDDOBOOZI LYA KATONDA

  • EKISINZIIRWAKO OKUSALIRWA OMUSANGO

Ku Bbalaza nga Nisaani 10, Yesu ali mu yeekaalu era ayogera ku ky’okuba nti anaatera okuttibwa. Olw’okuba mweraliikirivu olw’engeri ekyo gye kinaakwata ku linnya lya Katonda, Yesu agamba nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Eddoboozi ery’amaanyi liva mu ggulu ne ligamba nti: “Ndigulumizza era nja kuligulumiza nate.”​—Yokaana 12:27, 28.

Abantu abaliwo basoberwa. Abamu batandika okugamba nti eggulu lye libwatuse. Abalala bagamba nti: “Malayika ayogedde naye.” (Yokaana 12:29) Kyokka eryo lye bawulidde libadde ddoboozi lya Yakuwa! Era guno si gwe mulundi ogusoose abantu okuwulira eddoboozi lya Katonda nga Yesu waali.

Emyaka ng’esatu n’ekitundu emabega, Yesu bwe yali abatizibwa, Yokaana Omubatiza yawulira Katonda ng’ayogera ku Yesu nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” Nga wayise ekiseera, oluvannyuma lw’embaga y’Okuyitako ey’omwaka gwa 32 E.E., Yesu yafuusibwa nga Yakobo, Yokaana, ne Peetero weebali. Abasajja abo abasatu baawulira Katonda ng’agamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima. Mumuwulire.” (Matayo 3:17; 17:5) Naye ku luno, ku mulundi ogw’okusatu, Yakuwa ayogera ng’abantu bangi bawulira!

Yesu agamba nti: “Eddoboozi lino teriwuliddwa ku lwange, wabula ku lwammwe.” (Yokaana 12:30) Eddoboozi eryo liwa obukakafu nti Yesu Mwana wa Katonda era nti ye Masiya eyasuubizibwa.

Engeri Yesu gy’atambuzaamu obulamu bwe eraga engeri abantu gye basaanidde okweyisaamu era eraga nti Sitaani Omulyolyomi, omufuzi w’ensi eno, agwana okuzikirizibwa. Yesu agamba nti: “Kaakano ensi eno esalirwa omusango; era omufuzi w’ensi eno ajja kugoberwa ebweru.” Yesu okufa tekiraga nti awanguddwa wabula kiraga nti awangudde. Mu ngeri ki? Yesu agamba nti: “Bwe nnaawanikibwa, nja kusika abantu aba buli kika okubazza gye ndi.” (Yokaana 12:31, 32) Okuyitira mu kufa kwe ku muti, Yesu ajja kusika abantu bangi okubazza gy’ali, abaggulirewo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

Oluvannyuma lw’okuwulira Yesu ng’ayogera ebikwata ku ‘kuwanikibwa’ kwe, ekibiina ky’abantu kimugamba nti: “Twawulira mu Mateeka nti Kristo wa kubeerawo emirembe n’emirembe. Oyinza otya okugamba nti Omwana w’omuntu agenda kuwanikibwa? Omwana w’omuntu oyo y’ani?” (Yokaana 12:34) Wadde nga waliwo obukakafu bungi, nga mw’otwalidde n’okuba nti bawulidde eddoboozi lya Katonda, abantu abasinga obungi tebakkiriza nti Yesu ye Mwana w’omuntu, Masiya eyasuubizibwa.

Nga bw’azze akola, ne ku luno Yesu yeeyogerako ‘ng’ekitangaala.’ (Yokaana 8:12; 9:5) Agamba ekibiina ky’abantu nti: “Ekitangaala kijja kuba nammwe okumala akaseera katono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme okubasinza amaanyi . . . Mukkiririze mu kitangaala nga mukyakirina musobole okubeera abaana b’ekitangaala.” (Yokaana 12:35, 36) Oluvannyuma Yesu avaawo n’agenda, okuva bwe kiri nti talina kuttibwa nga Nisaani 10. Yesu alina ‘kuwanikibwa,’ kwe kugamba, okukomererwa ku muti, ku mbaga ey’Okuyitako nga Nisaani 14.​—Abaggalatiya 3:13.

Okuba nti Abayudaaya bagaana okukkiriza Yesu, kituukiriza obunnabbi. Nnabbi Isaaya yagamba nti amaaso g’abantu gandibadde gaziba era nti n’emitima gyabwe gyandibadde mikakanyavu baleme okukyuka basobole okuwonyezebwa. (Isaaya 6:10; Yokaana 12:40) Mu butuufu, Abayudaaya abasinga obungi bagaana okukkiriza nti Yesu ye Mununuzi waabwe eyasuubizibwa, ekkubo ery’obulamu.

Nikodemu, Yusufu ow’e Alimasaya, n’abafuzi abalala bangi ‘bakkiririza’ mu Yesu. Naye banaayoleka okukkiriza, oba tebaakwoleke, oboolyawo olw’okutya okugobebwa mu kkuŋŋaaniro oba ‘olw’okwagala ekitiibwa ky’abantu’?​—Yokaana 12:42, 43.

Yesu kennyini alaga ebizingirwa mu kumukkiririzaamu. Agamba nti: “Oyo anzikiririzaamu aba takkiririza mu nze nzekka, naye era aba akkiririza ne mu oyo eyantuma; era n’oyo andaba aba alaba n’Oyo eyantuma.” Amazima Katonda ge yakwasa Yesu okuyigiriza abantu era Yesu g’agenda mu maaso ng’alangirira, ga muwendo nnyo ne kiba nti Yesu asobola okugamba nti: “Oyo aŋŋaana era n’agaana n’ebigambo byange, alina anaamusalira omusango. Ekigambo kye njogedde kye kijja okumusalira omusango ku lunaku olw’enkomerero.”​—Yokaana 12:44, 45, 48.

Yesu awunzika ng’agamba nti: “Kubanga soogedde ku bwange, naye Kitange eyantuma ye kennyini yandagira bye nteekwa okwogera. Era mmanyi nti ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 12:49, 50) Yesu akimanyi nti ekiseera kinaatera okutuuka aweeyo obulamu bwe nga ssaddaaka ku lw’abantu abamukkiririzaamu.​—Abaruumi 5:8, 9.