Obutassa Kitiibwa mu Balala
Bintu ki ebiraga nti tetussa kitiibwa mu balala bye tusaanidde okwewala?
Laba ne Zb 74:10, 18; Yud 8, 10
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
1Sa 2:12-17, 22-25, 27-30—Batabani ba Eli Kabona Asinga Obukulu tebassa kitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza, era Eli kitaabwe alemwa okubakangavvula n’akiraga nti tassa kitiibwa mu Yakuwa
2Sk 1:9-15—Yakuwa azikiriza abasajja abatassa kitiibwa mu nnabbi Eriya, naye awonyawo abo abalaga obwetoowaze