Okujjukira Okufa kwa Yesu
Olwokuna, Apuli 2, 2026
Omulundi gumu buli mwaka, Abajulirwa ba Yakuwa bakwata omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu, nga bwe yalagira nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”—Lukka 22:19.
Tukwaniriza awamu n’ab’omu maka go ku mukolo ogwo.
Ebibuuzo Abantu bye Batera Okwebuuza
Baani abakkirizibwa okubaawo?
Buli omu ayanirizibwa. Osobola okujja n’ab’omu maka go ne mikwano gyo.
Olukuŋŋaana olwo lunaamala bbanga ki?
Lujja kumala essaawa ng’emu.
Lunaabeera wa?
Buuza omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akubuulire we lunaabeera mu kitundu kyo awamu n’essaawa we lunaabeererawo.
Kineetaagisa okusasula ssente okusobola okuyingira, oba okusooka okukakasa nti nja kubangawo mu nkuŋŋaana zaabwe endala?
Nedda.
Wanaabaayo okusolooza ssente?
Nedda. Abajulirwa ba Yakuwa tebasolooza ssente mu nkuŋŋaana zaabwe zonna.—Matayo 10:8.
Waliwo engeri ey’enjawulo gye bambalamu ku mukolo ogwo?
Nedda. Wadde kiri kityo, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okwambala mu ngeri eraga nti bawa ekitiibwa omukolo ogwo omukulu ennyo.
Biki ebinaakolebwa ku kujjukira okufa kwa Yesu?
Olukuŋŋaana lujja kuggulwawo era lufundikirwe n’oluyimba awamu n’okusaba, era omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ajja kutukulemberamu mu kusaba. Mu kwogera okunaaweebwa tujja kulaba ensonga lwaki Yesu yafa, n’engeri gye tuyinza okuganyulwa mu ekyo Katonda ne Kristo kye baatukolera.
Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe, “Lwaki Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye Bakuzaamu Omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe Eyawukana ku y’Amadiini Amalala?”
Okujjukira okufa kwa Yesu mu myaka egijja kunaabaawo ddi?
2026: Olwokuna, Apuli 2
2027: Bbalaza, Maaki 22

